Essuula 150

Mumutendereze Mukama. Mumutendereze Katonda mu watukuvu we: Mumutendereze mu bbanga ery'amaanyi ge.
2 Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi: Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli.
3 Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere: Mumutendereze n'amadinda n'ennanga.
4 Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina: Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere:
5 Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo: Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono.
6 Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama.