0:00
0:00

Essuula 146

Mumutendereze Mukama. Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2 Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
3 Temwesiganga balangira, Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna.
4 Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.
5 Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, Asuubira Mukama Katonda we:
6 Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna; Akwata amazima ennaku zonna:
7 Abatuukiririza omusango abajoogebwa; Awa emmere abalumwa enjala; Mukama asumulula abasibe;
8 Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama ayimiriza abakutama; Mukama ayagala abatuukirivu;
9 Mukama akuuma bannaggwanga; Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu; Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.
10 Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.