Zabbuli
Essuula 58
Okwogera mwogera eby'obutuukirivu nga musirika? Musala omusango ogw'amazima, mmwe abaana ba bantu?
2 Naye mu mitima gyammwe mukola eby'obubi; Ettima ery'emikono gyammwe gwe musango gwe musala mu nsi.
3 Ababi bakyama okuva mu lubuto: Bwe bazaalibwa, amangu ago ne beekooloobya, nga boogera eby'obulimba.
4 Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota: Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo;
5 Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.
6 Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe: Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, ai Mukama.
7 Basaanuuke ng'amazzi agakulukuta amangu: Bw'ateeba n'obusaale bwe, babe nga bazikirizibwa.
8 Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo: Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana.
9 Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Aligaggirawo ddala n'embuyaga, amabisi n'ago agaaka gonna.
10 Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo: Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.
11 Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa: Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.