0:00
0:00

Essuula 143

Owulire okusaba kwange, ai Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.
2 So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga.
3 Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi: Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.
4 Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba.
5 Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo.
6 Nnyanjuluza engalo zange eri ggwe: Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ensi ekooye. (Seera)
7 Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakkira mu bunnya.
8 Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
9 Omponye, ai Mukama, eri abalabe bange: Nziruka okujja w'oli okwekisa.
10 Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey'obutuukirivu.
11 Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku.
12 Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Omalewo bonna ababonyaabonya emmeeme yange; Kubanga ndi muddu wo.