0:00
0:00

Essuula 126

Mukama bwe yazza nate obusibe bwa Sayuuni, Ne tufaanana ng'abo abaloota.
2 Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe okuyimba: Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti Mukama abakoledde ebikulu.
3 Mukama atukoledde ebikulu; Kyetuvudde tusanyuka.
4 Ozze nate obusibe bwaffe, ai Mukama, Ng'emigga mu bukiika obwa ddyo.
5 Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.
6 Newakubadde nga yagenda ng'akaaba, ng'atwala ensigo; Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye.