Zabbuli
Essuula 116
Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.
2 Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3 Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana.
4 Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.
5 Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.
6 Mukama akuuma abo abatalina nkwe: Najeezebwa, n'andokola.
7 Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi.
8 Kubanga omponyezza emmeeme yange okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange obutagwa.
9 Naatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu.
10 Nzikiriza, kubanga ndyogera: Nabonyaabonyezebwa nnyo:
11 Ne njogera nga nnyanguwa Nti Abantu bonna bulimba.
12 Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze?
13 Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
14 Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna.
15 Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.
16 Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba.
17 Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
18 Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna;
19 Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.