0:00
0:00

Essuula 71

Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
2 Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye: Ontegere okutu, ondokole.
3 Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo: Walagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
4 Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
5 Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
6 Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wanziya mu byenda bya mmange: Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
7 Nninga ekitalo eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.
8 Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9 Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10 Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesa wamu,
11 Nga boogera nti Katonda amulese: Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.
12 Ai Katonda, tombeera wala: Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13 Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14 Naye naasuubiranga ennaku zonna, Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15 Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.
16 Najjanga n'ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda: Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17 Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18 Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
19 Era n'obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo: Ggwe eyakola ebikulu, Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani?
20 Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
21 Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.
22 Era naakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange: Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ai ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.
23 Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula.
24 Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde: Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.