Zabbuli
Essuula 111
Mumutendereze Mukama. Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
2 Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.
3 Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu: N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4 Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
5 Awa emmere abo abamutya: Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.
6 Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.
7 Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera.
8 Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu.
9 Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna: Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa.
10 Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.