0:00
0:00

Essuula 18

Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange.
2 Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.
3 Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa: Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange.
4 Emigwa egy'okufa gyansiba, N'ebitaba eby'obutatya Katonda byantiisa.
5 Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa.
6 Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.
7 Ensi n'eryoka ekankana n'esagaasagana, Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa, Kubanga asunguwadde.
8 Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze, N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya: Ne gukoleeza amanda.
9 Era n'eggulu n'alikutamya, n'akka; N'ekizikiza ekinene ne kiba wansi w'ebigere bye.
10 Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Era n'abuuka mangu ku biwaawaatiro eby'empewo.
11 Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde; Ekizikiza eky'amazzi, ebire ebikutte eby'omu ggulu.
12 Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita, Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
13 Era Mukama n'abwatuka mu ggulu N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye; Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
14 N'alasa obusaale bwe n'abasaasaanya; N'alasa enjota nnyingi n'abeeraliikiriza.
15 Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Mu kunenya kwo, ai Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo,
16 Yatuma okuva waggulu, n'antwala; N'ampalula mu mazzi amangi.
17 Yamponya eri mulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze.
18 Banjijira ku lunaku olw'akabi kange: Naye Mukama ye yannyweza.
19 Era n'anfulumya mu kifo ekigazi; Yamponya, kubanga yansanyukira.
20 Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde.
21 Kubanga nakwata amakubo ga Mukama, Ne ssireka Katonda wange n'obubi.
22 Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange, So amateeka ge saagaggyaawo gye ndi.
23 Era nali eyatuukirira gy'ali. Ne nneekuuma mu bubi bwange.
24 Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge.
25 Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira;
26 Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
27 Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa; Naye amaaso ag'amalala onoogatoowazanga.
28 Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange. Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.
29 Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo.
30 Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
31 Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?
32 Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange.
33 Afuula ebigere byange ng'eby'empeewo: Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu.
34 Anjigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo.
35 Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, N'ebisinziiro byange tebiseereranga.
37 Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako: So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa.
38 Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka: Baligwa wansi w'ebigere byange.
39 Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako.
40 Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi, Ndyoke nzikirize abankyawa.
41 Baakoowoola, naye tewaali mulokozi: Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu.
42 Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo.
43 Omponyezza mu kuyomba kw'abantu; Onfudde omutwe gw'amawanga; Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
44 Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera: Bannaggwanga balinjeemulukukira.
45 Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana.
46 Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe; Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange :
47 Ye Katonda ampalanira eggwanga Era awangula amawanga ngafuge.
48 Amponya eri abalabe bange: Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako: Ondokola eri omuntu ow'ekyejo
49 Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga, Naayimbanga okutendereza erinnya lyo.
50 Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we; Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.