0:00
0:00

Essuula 64

Owulirenga eddoboozi lyange, ai Katonda, mu kwemulugunya kwange: Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe.
2 Onkweke eri abakozi b'obubi abateesa mu kyama; N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu:
3 Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala, Abateebye obusaale bwabwe bye bigambo eby'obukambwe:
4 Balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby'ekyama: Baamulasa nga talaba, ne batatya.
5 Bagumyagana emyoyo mu kuteesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti Anaagiraba ani?
6 Banoonya ebitali bya butuukirivu; boogera nti Tumaze okunoonyeza ddala nga tufuba: N'okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biri ng'obuziba.
7 Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n’akasaale nga tebalowooza.
8 Bwe batyo bwe baneesittazibwanga, olulimi lwabwe bennyini nga lubagwisa: Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.
9 Era abantu bonna banaatyanga; Ne batendera omulimu gwa Katonda, Ne balowooza n'amagezi bye yakola.
10 Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga; Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga.