Zabbuli
Essuula 108
Omutima gwange gunywedde, ai Katonda; Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange.
2 Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze naakeera nnyo okuzuukuka.
3 Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga: Era naayimbanga okukutendereza mu bantu.
4 Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu: N'amazima go gatuuka mu ggulu.
5 Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu: N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
6 Muganzi wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
7 Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
8 Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
9 Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto Yange Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10 Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu?
11 Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
12 Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
13 Katonda ye alitukoza eby'obuzira: Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe.