0:00
0:00

Essuula 112

Mumutendereze Mukama. Alina omukisa oyo atya Mukama, Asanyukira ennyo amateeka ge.
2 Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi: Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa.
3 Ebintu n'obugagga biri mu nnyumba ye: N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4 Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza: Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.
5 Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa, awola; Alinyweza ensonga ye bw'alisalirwa omusango.
6 Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna; Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo.
7 Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.
8 Omutima gwe gutereera, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.
9 Agabye, awadde abaavu; Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna: Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa.
10 Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo; Aliruma obujiji n'amannyo ge: alinyolwa: Omubi by'ayagala birifa.