0:00
0:00

Essuula 57

Onsaasire, ai Katonda, onsaasire; Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, Okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo.
2 Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo; Katonda ankolera byonna.
3 Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Oyo ayagala okummira bw'anvuma; (Seera) Katoada alituma okusaasira kwe n'amazima ge.
4 Emmeeme yange eri mu mpologoma; Ngalamidde mu abo abaaka n'omuliro, Be baana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale, N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi:
5 Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
6 Bateekeddeteekedde akatimba ebigere byange; Emmeeme yange ekutamye: Bansimidde obunnya mu kkubo lyange; Babuguddemu wakati bo bennyini. (Seera)
7 Omutima gwange gunywedde, ai Katonda, omutima gwange gunywedde: Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza.
8 Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga: Nze nzekka naazuukuka enkya mu matulutulu.
9 Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu: Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga.
10 Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, N'amazima go gatuuka mu bbanga.
11 Bakugulumize, ai Katonda, Okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.