0:00
0:00

Essuula 76

Mu Yuda Katonda amanyibwa: Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2 Era mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.
3 Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo. (Seera
4 Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago.
5 Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.
6 Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo, Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa.
7 Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa: Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala?
8 Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu; Ensi n'etya, n'esirika;
9 Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera)
10 Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza: Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
11 Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe: Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
12 Alizikiriza omwoyo gw'abalangira: Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.