Zabbuli
Essuula 31
Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna: Ondokole mu butuukirivu bwo.
2 Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,
3 Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
4 Onziye mu kyambika kye banteze enkiso; Kubanga ggwe oli bbugwe wange.
5 Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow'amazima.
6 Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby'obulimba ebitaliimu: Naye neesiga Mukama.
7 Naasanyukanga, naajaguzanga olw'okusaasira kwo: Kubanga walaba ebibonoobono byange; Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku:
8 So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe; Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.
9 Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze: Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri gwange.
10 Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyaka gyange giyita n'okusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze.
11 Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume, Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange: Abandaba mu kkubo ne banziruka.
12 Nneerabiddwa ng'omufu atalowoozebwa: Nfaanana ng'ekibya ekyatise.
13 Kubanga nawulira okuwaayiriza kw'abangi, Ensisi yanneetooloola: Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze, Ne basala amagezi okunziyako obulamu bwange.
14 Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama: Nayogera nti Ggwe Katonda wange.
15 Entuuko zange ziri mu mukono gwo: Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.
16 Amaaso go gaakire omuddu wo: Ondokole mu kisa kyo.
17 Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe: Ababi bakwatibwenga ensonyi, basirikenga mu magombe.
18 Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga; Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo, N'amalala n'okunyooma.
19 Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
20 Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu: Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.
21 Atenderezebwenga Mukama: Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.
22 Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzikiridde mu maaso go: Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.
23 Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala.
24 Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, Mwenna abasuubira mu Mukama.