0:00
0:00

Essuula 73

Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu.
2 Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono okuseerera.
3 Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.
4 Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera.
5 Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala:
6 Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo.
7 Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8 Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu.
9 Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi.
10 Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.
11 Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?
12 Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.
13 Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona;
14 Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya.
15 Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo.
16 Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema;
17 Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.
18 Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira.
19 Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala.
20 Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21 Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfumita;
22 Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go.
23 Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24 Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
25 Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.
26 Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
27 Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.
28 Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.