0:00
0:00

Essuula 6

Ai Mukama; tonnenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2 Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala: Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde.
3 Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo: Naawe, ai Mukama, olituusa wa?
4 Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange: Omponye olw'ekisa kyo:
5 Kubanga tewali akujuukirira mu kufa: Ani alikwebaliza mu magombe?
6 Okusinda kwange kunkooyezza; Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange; Ekitanda kyange nkitobya n'amaziga.
7 Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala; Likaddiye olw'abalabe bange bonna.
8 Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu; Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly'okukaaba kwange.
9 Mukama awulidde okwegayirira kwange; Mukama anakkirizanga okusaba kwange.
10 Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo: Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu.