Zabbuli
Essuula 83
Ai Katonda, tosirika nate: Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.
2 Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana: N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
3 Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
4 Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
5 Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe:
6 Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale;
7 Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo:
8 Era n'Obwasuli bwegasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. (Seera)
9 Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
10 Abaazikiririra e Endoli; Ne bafuuka nga obusa ku ttaka.
11 Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna:
12 Abaayogera nti Twetwalire fekka Ennyumba za Katonda tuzirye.
13 Ai Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala.
14 Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi;
15 Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo.
16 Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama.
17 Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
18 Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna.