0:00
0:00

Essuula 100

Muleetere Mukama eddoboozi ery'essanyu, mmwe ensi zonna.
2 Mumuweereze Mukama n'essanyu: Mujje mu maaso ge n'okuyimba.
3 Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye.
4 Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
5 Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.