Zabbuli
Essuula 32
Aweereddwa omukisa asonyiyiddwa ekyonoono kye n'ekibi kye kikwekeddwa.
2 Aweereddwa omukisa Mukama gw'atabalira butali butuukirivu. Ne mu mwoyo gwe temuli bukuusa.
3 Bwe nnasirikanga, amagumba gange gaakaddiwanga, Olw'okukaaba kwange obudde okuziba.
4 Kubanga emisana n'ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga: Amazzi gange ne gakaliranga ng'olw'omusana ogw'ekyeya.(Seera)
5 Ne nkwatulira ekibi kyange, n'obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka: Nayogera nti Mukama naamwatulira ebyonoono byange; Naawe n'onsonyiwa obutali butuukirivu obw'ekibi kyange. (Seera)
6 Ku lw'ekyo buli atya Katonda akusabenga mu biro by'oyinza okulabikiramu: Mazima mu ntaba ez'amazzi amangi tebalituuka gy'ali.
7 Oli bwekweko bwange; ononkuumanga mu kulaba ennaku; Ononneetooloozanga ennyimba ez'obulokozi. (Seera)
8 Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu: Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.
9 Temuba nga mbalaasi, n'ennyumbu, ezitalina magezi: Ezigwanira okusibibwa ekyuma n'olukoba okuziziyiza, Awatali ebyo, tezirijja gy'oli.
10 Ababi banaalabanga ennaku nnyingi: Naye oyo eyeesiga Mukama okusaasirwa kunaamwetooloolanga.
11 Musanyukire Mukama, mujaguze, mmwe abatuukirivu: Mwogerere waggulu olw'essanyu, mwenna abalina omutima ogw'amazima.