Zabbuli
Essuula 48
Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono, Ekibuga kya kabaka omukulu.
3 Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro.
4 Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Ne bayitamu wamu.
5 Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne baanguwa okugenda.
6 Ensisi n'ebakwatira omwo; N'okulumwa, ng'omukazi azaala.
7 Omuyaga oguva ebuvanjuba Ogumenyesa amaato ag'e Talusiisi.
8 Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe: Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera)
9 Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda, Wakati mu yeekaalu yo.
10 Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi: Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
11 Olusozi Sayuuni lusanyuke, Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo.
12 Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye: Mubale ebigo byakyo.
13 Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.
14 Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.