0:00
0:00

Essuula 123

Eri ggwe nnyimusa amaaso gange, Ai ggwe atuula mu ggulu.
2 Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira.
3 Otusaasire, ai Mukama, otusaasire: Kubanga tujjudde nnyo okunyoomebwa
4 Emmeeme yaffe ejjudde nnyo Okuduulirwa abo abalina emirembe, N'okunyoomebwa abo abalina amalala.