0:00
0:00

Essuula 88

Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go:
2 Okusaba kwange kuyingire w'oli; Otege okutu kwo eri okukaaba kwange:
3 Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku, N'obulamu bwange busemberera e magombe.
4 Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya; Nninga omuntu atalina mubeezi:
5 Asuulibwa mu bafu, Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana, B'otojjukira nate; Era bayawukana n'omukono gwo.
6 Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo, Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba.
7 Obusungu bwo bunyigiriza nnyo, Era ombonyabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera)
8 Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi; Onfudde ekitama eri abo: Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu.
9 Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala: Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama, Ntega engalo zange eri ggwe.
10 Oliraga abafu eby'amagero? Abaafa baligolokoka balikutendereza? (Seera)
11 Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N'obwesigwa bwo mu kuzikirira?
12 Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza? N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira?
13 Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira, Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go.
14 Mukama, kiki ekikusuuza emmeeme yange? Kiki ekikunkwesa amaaso go?
15 Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange: Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.
16 Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko; Entiisa zo zinzingizizza.
17 Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde; Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu.
18 Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange, N'abo be mmanyi mu kizikiza.