0:00
0:00

Essuula 103

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna:
3 Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna;
4 Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi:
5 Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng'empungu.
6 Mukama akola eby'obutuukirivu, Atuukiriza emisango ku lw'abo bonna abajoogebwa.
7 Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8 Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.
9 Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10 Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12 Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe:
13 Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
14 Kubanga amanyi omubiri gwaffe; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
15 Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo.
16 Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
17 Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana;
18 Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.
19 Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna.
20 Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye.
21 Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala.
22 Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.