0:00
0:00

Essuula 82

Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda; Asala emisango mu bakatonda.
2 Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? (Seera)
3 Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
4 Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga: Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
5 Tebamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza: Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
6 Nayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
7 Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
8 Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango: Kubanga olisikira amawanga gonna.