0:00
0:00

Essuula 139

Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.
2 Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.
3 Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna.
4 Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, ai Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala.
5 Onzingizizza mu maaso n'ennyuma, Era ontaddeko omukono gwo.
6 Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.
7 Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go?
8 Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli.
9 Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo;
10 Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.
11 Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako, N'omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro;
12 Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.
13 Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange.
14 Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.
15 Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.
16 Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyawumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu.
17 Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu nga bingi!
18 Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo: Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
19 Tolirema kutta babi, ai Katonda: Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi.
20 Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo.
21 Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe? Sinyiigira abo abakugolokokerako?
22 Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange.
23 Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: Onkeme, omanye ebirowoozo byange:
24 Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.