Zabbuli
Essuula 16
Onkuume, ai Katonda: kubanga nkwesiga ggwe.
2 ŋŋambye Mukama nti Ggwe oli Mukama wange: Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.
3 Abatukuvu abali mu nsi, Abo be basinga obulungi, be nsanyukira essanyu lyange lyonna.
4 Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala: Esaddaaka zaabwe ez'okunywa ez'omusaayi ssiiziwengayo. So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange.
5 Mukama gwe mugabo ogw'obusika bwange n'ogw'ekikompe kyange: Gwe okuuma ebyange.
6 Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi; Mazima nnina obusika obulungi.
7 Neebazanga Mukama, anteeserezza ebigambo: Mazima, emmeeme yange enjigiriza mu biseera eby'ekiro.
8 Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.
9 Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'ekitiibwa kyange kijaguza: Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 Kubanga tolireka mmeeme yange mu magombe; So toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda.
11 Onondaganga ekkubo ery'obulamu: Gy'oli waliwo essanyu erituukirira; Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe.