Zabbuli
Essuula 25
Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
2 Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe, Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi; Abalabe bange tobaganya kumpangula.
3 Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere.
4 Ondage amakubo go, ai Mukama; Onjigirize empenda zo.
5 Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
6 Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna.
7 Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama.
8 Mukama ye mulungi era wa mazima: Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
9 Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.
10 Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe:
11 Olw'erinnya lyo, ai Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.
12 Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga.
13 Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe; N'ezzadde lye linaasikiranga ensi.
14 Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya; Era anaabalaganga endagaano ye.
15 Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.
16 Onkyukire, onsaasire; Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona.
17 Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde: Kale onziye mu bibonoobono byange.
18 Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange; Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
19 Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe.
20 Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga: Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe.
21 Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe.
22 Nunula Isiraeri, ai Katonda, Mu bibonoobono bye byonna.