0:00
0:00

Essuula 147

Mumutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma.
2 Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab'omu Isiraeri.
3 Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe.
4 Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo.
5 Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka.
6 Mukama awanirira abawombeefu: Asindika wansi ababi.
7 Mumuyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe;
8 Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi.
9 Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.
10 Tasanyukira maanyi ga mbalaasi: Teyeesiimira amagulu g'omuntu.
11 Mukama yeesiimira abo abamutya, Abo abasuubira okusaasira kwe.
12 Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13 Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14 Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akujjuza obugimu obw'eŋŋaano.
15 Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16 Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu.
17 Aweereza amazzi ge agakutte ng'obukunkumuka: Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?
18 Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa: Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta.
19 Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri.
20 Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna: N'emisango gye tebagimanyanga. Mumutendereze Mukama.