0:00
0:00

Essuula 118

Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Isiraeri ayogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Abo abamutya Mukama boogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 Bwe nnali mu nnaku ne nkaabira Mukama: Mukama n'anjitaba, n'anteeka mu kifo ekigazi.
6 Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: Abantu bayinza kunkola ki?
7 Mukama ali ku luuyi lwange mu abo abannyamba: Kyendiva ndaba bye njagala nga bituuse ku abo abankyaye.
8 Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu.
9 Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira.
10 Amawanga gonna ganneetoolodde: Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
11 Ganneetoolodde; weewaawo, ganneetoolodde; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
12 Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa: Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.
13 Bansoya nnyo okungwisa: Naye Mukama n'annyamba.
14 Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; Era afuuse obulokozi bwange.
15 Eddoboozi ery'essanyu era ery'obulokozi liri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa dddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
16 Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa: Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
17 Sirifa, naye naabeeranga mulamu, Era naabuuliranga omirimu gya Mukama.
18 Mukama ambonerezza nnyo: Naye tangabulanga eri okufa.
19 Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu: Naaziyingiramu, ne nneebaza Mukama.
20 Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu.
21 Naakwebazanga, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange.
22 Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
23 Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola; Tunaasanyuka, tunaajaguliza okwo.
25 Olokole kaakano, tukwegayiridde, ai Mukama: Ai Mukama, tukwegayiridde, oweereze omukisa kaakano.
26 Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama: Tubasabidde omukisa nga tuyima mu nnyumba ya Mukama.
27 Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana Musibe ssaddaaka n'emigwa,musibe ku mayembe g'ekyoto.
28 Ggwe oli Katonda wange, nange naakwebazanga: Ggwe oli Katonda wange, naakugulumizanga.
29 Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.