0:00
0:00

Essuula 124

Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano;
2 Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako:
3 Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako:
4 Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe:
5 Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
6 Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
7 Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi: Omutego gukutuse, naffe tuwonye.
8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.