0:00
0:00

Essuula 121

Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa?
2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
3 Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga.
4 Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga.
5 Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.
6 Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro.
7 Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.
8 Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.