Zabbuli
Essuula 10
Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku?
2 Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo: Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa.
3 Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama.
4 Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana. Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda.
5 Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna; Emisango gyo giri waggulu nnyo gy'atayinza kugirabira: Abalabe be bonna abasooza.
6 Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana: Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku.
7 Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga: Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu:
8 Atuula mu mateegero ag'ebyalo: Mu bwekweko atta abatalina misango: Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama.
9 Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo: Yeekisa okukwata omwavu: Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye.
10 Akutama, akootakoota, Abasajja be ab'amaanyi ne basuula abanafu.
11 Ayogera mu mutima gwe nti Katonda yeerabidde: Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba.
12 Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo: Teweerabira mwavu.
13 Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana?
14 Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo: Omunafu yeewaayo gy'oli; Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe.
15 Menya omukono gw'omubi; Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu.
16 Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe: Amawanga gazikiridde mu nsi ye.
17 Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala: Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo:
18 Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa. Omuntu, ye w'omu nsi, aleke okubeera n'entiisa.