0:00
0:00

Essuula 2

Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu?
2 Bakabaka ab'ensi beeteeseteese, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti
3 Ka tumenyemenye enjegere zaabwe, Tusuule wala emigwa gyabwe.
4 Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira.
5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:
6 Naye naateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
7 Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.
8 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go.
9 Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi.
10 Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka: Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi.
11 Muweereze Mukama n'okutya, Era musanyuke n'okukankana.
12 Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.