Zabbuli
Essuula 148
Mumutendereze Mukama Mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu: Mumutendereze mu bifo ebya waggulu.
2 Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna: Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna.
3 Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi: Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka.
4 Mumutendereze, mmwe eggulu ly'eggulu, Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu.
5 Bitendereze erinnya lya Mukama: Kubanga yalagira, ne bitondebwa.
6 Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe: Yateeka etteeka eritaridiba.
7 Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba:
8 Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka: Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye:
9 Ensozi n'obusozi bwonna; Emiti egibala n'emivule gyonna:
10 Ensolo n'ente zonna; Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka:
11 Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna; Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi:
12 Abavubuka n'abawala; Abakadde n'abato:
13 Batendereze erinnya lya Mukama; Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.
14 Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be, Ettendo eryabatukuvu be bonna; Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi: Mumutendereze Mukama.