0:00
0:00

Essuula 8

Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.
2 Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.
3 Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo, Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira;
4 Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
5 Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
6 Wamufuza emirimu egy'emikono gyo; Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye:
7 Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko;
8 Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja.
9 Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!