Engero
Essuula 1
Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
2 Okumanyanga amagezi n'okuyigirizibwanga; Okwawulanga ebigambo eby'okutegeera;
3 Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby'amagezi, Obutuukirivu n'okusalanga emisango n'okugobereranga ensonga;
4 Okuwanga abatalina magezi obukabakaba, Omulenzi abeerenga n'okumanya n'okuteesa:
5 Ow'amagezi awulire yeeyongerenga okuba n'okuyiga; Era omusajja alina okutegeera afune okuteesanga okutuufu.
6 Okutegeeranga olugero n'ekifaananyi; Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe.
7 Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.
8 Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, So tova mu tteeka lya nnyoko:
9 Kubanga binaabanga ngule ya kisa ku mutwe gwo, N'emikuufu egyetoolodde obulago bwo.
10 Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasenda, Tokkirizanga.
11 Bwe boogera nti Jjangu tugende fenna, Tuteege omusaayi, Tugwire mu kyama ataliiko musango awatali nsonga;
12 Tubamire nga bakyali balamu ng'amagombe, Era nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;
13 Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo omungi. Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago;
14 Oneekubira akalulu wamu naffe; Fenna tunaabanga n'ensawo emu:
15 Mwana wange, totambuliranga mu kkubo wamu nabo: Ziyizanga ekigere kyo okuyitanga mu lugendo lwabwe:
16 Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, Era byanguwa okuyiwa omusaayi.
17 Kubanga bategera bwereere ekitimba, Ennyonyi yonna ng'ekiraba:
18 Era abo bateega omusaayi gwabwe bo, Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo.
19 Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba; Gaggyawo obulamu bwa bannyini go.
20 Amagezi googerera waggulu mu luguudo; Galeeta eddoboozi lyago mu bifo ebigazi;
21 Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu miryango, Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago:
22 Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Mukyuke olw'okunenya kwange: Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli, Naabamanyisanga ebigambo byange.
24 Kubanga mpise, mmwe ne mugaana; Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo;
25 Naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna, So temwagadde kunenya kwange n'akatono:
26 Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku; Ndikudaala entiisa yammwe bw'erituuka;
27 Entiisa yammwe bw'erituuka ng'omuyaga, N'ennaku ze muliraba bwe zirijja ng'embuyaga ez'akazimu; Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira.
28 Kale bwe balinkaabira, naye siriddamu; Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba:
29 Kubanga baakyawanga okumanya, So tebeerobozanga kutya Mukama:
30 Tebaayagalanga kuteesa kwange n'akatono; Baanyoomanga okunenya kwange kwonna:
31 Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo, Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.
32 Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta, N'okulaba omukisa okw'abasirusiru kulibazikiriza.
33 Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.