Engero
Essuula 29
Omuntu akakanyaza ensingo ye bw'anenyezebwa emirundi emingi Alimenyeka nga tamanyiridde awatali kuwonyezebwa.
2 Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda.
3 Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye.
4 Kabaka anyweza ensi lwa kusala misango: Naye asolooza enguzi agisuula.
5 Omuntu anyumiriza munne Ategera ebigere bye ekitimba.
6 Mu kusobya kw'omuntu omubi mulimu ekyambika: Naye omutuukirivu ayimba n'asanyuka.
7 Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya.
8 Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakyusa obusungu ne buvaawo.
9 Omuntu ow'amagezi bw'aba n'empaka n'omuntu omusirusiru, Oba nga asunguwala oba nga aseka, tewaliba kuwummula.
10 Abayagala omusaayi bakyawa oyo eyatuukirira: N'omugolokofu banoonya obulamu bwe.
11 Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya.
12 Omukulu bw'awulira eby'obulimba, Abaddu be bonna baba babi.
13 Omwavu n'omujoozi balabagana: Mukama ayakira amaaso gaabwe bombi.
14 Kabaka asalira abaavu emisango n'obwesigwa, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
15 Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.
16 Ababi bwe beeyongera, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu balitunuulira okugwa kwabwe.
17 Buuliriranga omwana wo, anaakuwanga okuwummula; Weewaawo, anaasanyusanga emmeeme yo.
18 Awatali kwolesebwa, abantu basuula okuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa.
19 Omuddu taganya kubuulirirwa lwa bigambo: Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
20 Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
21 Alera omuddu we nga yeekanasa okuva mu buto bwe Alimufuukira omwana ku nkomerero.
22 Omuntu ow'obusungu aleeta ennyombo, N'ow'ekiruyi okusobya kwe kuba kungi nnyo nnyini.
23 Amalala ag'omuntu galimutoowaza: Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24 Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Awulira okulayizibwa n'atabaako ky'ayogera.
25 Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26 Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye omusango gw'omuntu guva eri Mukama.
27 Omuntu atali wa nsonga wa muzizo eri abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu wa muzizo eri ababi.