Engero
Essuula 6
Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'okubira omugenyi mu ngalo,
2 Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze.
3 Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze otayirire muliraanwa wo.
4 Toganyanga maaso go kwebaka Newakubadde ebikowe byo okubongoota.
5 Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi, Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi.
6 Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu; Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi:
7 Eyo terina mwami, Newakubadde omulabirizi newakubadde afuga,
8 Naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka.
9 Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu? Oligolokoka ddi mu tulo two?
10 Wakyaliwo okwebaka okutono n'okubongoota okutono, N'okufunya emikono okutono okwebaka:
11 Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi, N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.
12 Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja ow'obutali butuukirivu; Atambula ng'alina akamwa akabambaavu;
13 Atemya amaaso, ayogeza bigere bye, Abagula n'engalo ze;
14 Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata; Asiga okukyawagana nga tamanyiridde;
15 Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde; Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa.
16 Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa; Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali:
17 Amaaso ag'amalala, olulimi olulimba, N'engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango;
18 Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, Ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima;
19 Omujulirwa w'obulimba ayogera eby'obulimba, N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda.
20 Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga tteeka lya nnyoko:
21 Bisibenga ennaku zonna ku mutima gwo, Binywezenga mu bulago bwo.
22 Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw'oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe.
23 Kubanga etteeka ttabaaza; ekiragiro musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu:
24 Okukuumanga eri omukazi omubi, Eri okunyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo; So n'ebikowe bye biremenga okukukwasa.
26 Kubanga olw'omukazi omwenzi omuntu afuuka mmere bumere: N'omukazi omwenzi ayigga obulamu obw'omuwendo omungi.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira?
29 Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne; Buli amukomako talirema kubonerezebwa.
30 Abantu tebanyooma mubbi oba ng'abba Okukkusa emmeeme ye ng'alumiddwa enjala:
31 Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye.
32 Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo.
33 Alifuna ebiwundu n'okunyoomebwa; N'ekivume kye tekirisangulibwa.
34 Kubanga obuggya kye kiruyi ky'omusajja; So talisaasira ku lunaku olw'okuwalanirako eggwanga.
35 Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyonna; So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.