Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 22

Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu.
2 Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna.
3 Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.
4 Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.
5 Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala.
6 Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
7 Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola.
8 Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo.
9 Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye.
10 Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma.
11 Ayagala omutima omulongoofu, Olw'ekisa eky'omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe.
12 Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya, Naye asuula ebigambo eby'omuntu asala enkwe.
13 Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru: N'attirwa mu nguudo.
14 Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo.
15 Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali.
16 Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi.
17 Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.
18 Kubanga kigambo kya ssanyu bw'obeera nabyo mu nda yo, Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo.
19 Obwesige bwo bube eri Mukama, Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe.
20 Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini Eby'okuteesa n'eby'okumanya;
21 Okukutegeeza ebigambo eby'amazima bwe bitabuusibwabuusibwa, Olyoke obaddize ebigambo eby'amazima abo abakutuma?
22 Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:
23 Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.
24 Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi:
25 Olemenga okuyiga amakubo ge, N'ofunira emmeeme yo ekyambika.
26 Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja:
27 Oba nga tolina kya kusasula, Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo?
28 Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba.
29 Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso ga bakopi.