Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 28

Ababi badduka nga tewali muntu agoberera: Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma.
2 Olw'okusobya kw'ensi bakabaka baamu baba bangi: Naye olw'abantu abalina okutegeera n'okumanya okunywera kwayo kulyongerwako.
3 Omuntu eyeetaaga ajooga abaavu Nkuba ewemmenta etalekaawo mmere yonna.
4 Abo abaleka amateeka batendereza ababi: Naye abo abakwata amateeka bayomba nabo.
5 Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.
6 Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.
7 Buli akwata amateeka mwana wa magezi: Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu akwasa kitaawe ensonyi.
8 Ayongera ku bintu bye olw'amagoba n'ebisalirwa Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.
9 Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo.
10 Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abatuukirira balisikira ebirungi.
11 Omugagga aba wa magezi mu kulowooza kwe ye; Naye omwavu alina okutegeera amukebera.
12 Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka.
13 Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa.
14 Alina omukisa omuntu atya mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.
15 Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu etambulatambula; Bw'abeera bw'atyo omukulu omubi afuga abantu abaavu.
16 Omulangira atalina kutegeera aba mujoozi nnyo era: Naye oyo akyawa omululu aliwangaala ennaku nnyingi.
17 Omuntu eyeebinise omusaayi ogwa buli muntu yenna Aliddukira mu bunnya; tewabangawo muntu amuziyiza.
18 Buli atambula n'obugolokofu aliwonyezebwa: Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.
19 Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abantu abataliiko kye bagasa aliba n'obwavu obulimumala.
20 Omuntu omwesigwa aliba n'okwebazibwa kungi: Naye ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.
21 Okusosola mu bantu si kulungi: Newakubadde omuntu okusobya olw'akamere obumere.
22 Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga, So tamanyi ng'okwetaaga kulimutuukako.
23 Anenya omuntu oluvannyuma alyeyongera okuganja Okusinga oyo anyumiriza n'olulimi.
24 Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Oyo ye munne w'omuzikiriza.
25 Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama aligejja.
26 Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru: Naye atambula n'amagezi ye aliwonyezebwa.
27 Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye akisa amaaso ge anaabanga n'ebikolimo bingi.
28 Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera.