Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 18

Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, Era alalukira amagezi gonna amatuufu.
2 Omusirusiru tasanyukira kutegeera, Naye omutima gwe gwebikkule bwebikkuzi.
3 Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa.
4 Ebigambo eby'omukamwa k'omuntu mazzi ga buziba: Oluzzi olw'amagezi mugga ogukulukuta.
5 Okukkiriza amaaso g'omubi si kulungi, Newakubadde okugoba omutuukirivu bw'awoza.
6 Emimwa gy'omusirusiru giyingira mu nnyombo, Akamwa ke ne kasaba emiggo.
7 Akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira kwe, N'emimwa gye kye kyambika eky'emmeeme ye.
8 Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.
9 Era n'oyo atenguwa ng'akola emirimu Ye muganda w'oyo azikiriza.
10 Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe.
11 Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky'amaanyi, Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.
12 Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.
13 Addamu nga tannawulira, Busirusiru n'ensonyi gy'ali.
14 Omwoyo gw'omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?
15 Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.
16 Ekirabo eky'omuntu kimuseguliza, Era kimutuusa mu maaso g'abakulu.
17 Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuukirivu; Naye munne n'ajja n'amukebera.
18 Akalulu kalekesaayo ennyombo, Era kalamula ab'amaanyi.
19 Ow'oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaanyi: Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.
20 Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke; Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala.
21 Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22 Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama.
23 Omwavu yeegayirira: Naye omugagga addamu n'ebboggo.
24 Akwana emikwano emingi yeereetako okuzikirira: Naye waliwo ow'omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow'oluganda.