Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 8

Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo?
2 Enguudo we zisibuka mu kkubo Mu masaŋŋanzira we gayimirira;
3 Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu:
4 Mmwe abasajja, mbakoowoola; N'eddoboozi lyange liri eri abaana b'abantu.
5 Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba; Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera.
6 Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga.
7 Kubanga akamwa kange kanaayogera eby'amazima; N'obubi bwa muzizo eri emimwa gyange.
8 Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde.
9 Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya.
10 Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza; N'okumanya okukira zaabu ennonde.
11 Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago.
12 Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange Era nnoonya okumanya n'okuteesa.
13 Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa.
14 Okuteesa kwange n'okumanya okutuufu: Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi.
15 Ku bwange bakabaka bafuga, Abalangira ne bateeka eby'obutuukiruvu.
16 Ku bwange abalangira bafuga, N'abakungu, abalamuzi bonna ab'oku nsi:
17 Njagala abo abanjagala; N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba.
18 Obugagga n’ekitiibwa biri nange; Wewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu.
19 Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi; N'amagoba gange gakira ffeeza ennonde.
20 Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, Wakati mu mpenda ez'okusala emisango:
21 Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu, Era njijuze amawanika gaabwe.
22 Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, Okusooka emirimu gye egy'edda.
23 Nateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo.
24 Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa; Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo.
25 Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, Nasooka obusozi okuzaalibwa:
26 Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Newakubadde enfuufu ey'ensi eyasooka.
27 Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo: Bwe yakulunga amaaso g'obuziba:
28 Bwe yanyweza eggulu waggulu: Ensulo ez'ennyanja bwe zaafuuka ez'amaanyi: omubi yeetonnyezaako ebbala.
29 Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye: Bwe yalamba emisingi gy'ensi:
30 Kale nze nga ndi awo gy'ali ng'omukoza: Era bulijjo yansanyukiranga, Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge;
31 Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; N'essanyu lyange lyali n'abaana b'abantu.
32 Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange.
33 Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga.
34 Alina omukisa omuntu ampulira, Ng'atunuulira bulijjo ku nzigi zange, Ng'alinda awali emifuubeeto gy'enzigi zange.
35 Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama.
36 Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa.