Engero
Essuula 14
Buli mukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye.
2 Atambulira mu bugolokofu bwe atya Mukama: Naye akyamakyama mu makubo ge amunyooma.
3 Mu kamwa k'omusirusiru mulimu omuggo ogw'amalala: Naye emimwa gy'ab'amagezi ginaabakuumanga.
4 Eteri nte ekisibo kiba kirongoofu: Naye amaanyi g'ente galeeta okwala kungi.
5 Omujulirwa omwesigwa talimba: Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza.
6 Anyooma anoonya amagezi n'atagalaba: Naye okumanya kwangu eri oyo alina okutegeera.
7 Yingira mu masso g'omusirusiru, Toolabe ku ye mimwa gya kumanya.
8 Okutegeera ekkubo lye ge magezi g'omutegeevu: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe kulimba.
9 Abasirusiru bakudaalira omusango: Naye mu bagolokofu mulimu ekisa.
10 Omutima gumanya okulumwa kwagwo; So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo.
11 Ennyumba ey'ababi erisuulibwa: Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa.
12 Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo ge makubo ag'okufa.
13 Ne bwe guseka omutima gunakuwala; N'enkomerero y'okuseka buyinike.
14 Adda ennyuma mu mutima gwe alikkuta amakubo ge ye: N'omuntu omulungi alikkuta ye yennyini.
15 Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: Naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.
16 Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusirusiru aba n'ettitimbuli, era yeeyinula.
17 Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru: N'omuntu asala enkwe embi akyayibwa.
18 Abatalina magezi basikira obusirusiru: Naye abategeevu bassibwako engule kwe kumanya.
19 Ababi bakutamira abalungi; N'ab'ekyejo awali emiryango egy'abatuukirivu.
20 Omwavu ne munne amukyawa: Naye omugagga alina emikwano mingi:
21 Anyooma munne ayonoona: Naye asaasira abaavu alina omukisa.
22 Abagunja obubi tebawaba? Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga byabwe abagunja obulungi.
23 Omulimu gwonna guliko kye gugasa: Naye okubuyabuya kw'emimwa kwavuwaza bwavuwaza.
24 Obugagga bwabwe ye ngule ey'ab'amagezi: Naye obusirusiru bw'abasirusiru busirusiru bwereere.
25 Omujulirwa ow'amazima awonya emmeeme z'abantu: Naye aleeta eby'obulimba akyamya.
26 Mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo: N'abaana be baliba n'obuddukiro.
27 Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa.
28 Mu lufulube lw'abantu mwe muli ekitiibwa kya kabaka: Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira:
29 Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: Naye alina omwoyo ogwanguyiriza agulumiza obusirusiru.
30 Omutima omutuufu bwe bulamu obw'omubiri: Naye obuggya kwe kuvunda kw'amagumba.
31 Ajooga omwavu avuma Omutonzi we: Naye asaasira oyo eyeetaaga amussaamu ekitiibwa.
32 Omubi asindikibwa wansi mu kwonoona kwe: Naye omutuukirivu alina essuubi mu kufa kwe:
33 Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera: Naye ekiri ku kitundu eky'abasirusiru eky'omunda kimanyisibwa.
34 Obutuukirivu bugulumiza eggwanga; Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna.
35 Omuddu akola eby'amagezi ye aganja eri kabaka: Naye obusungu bwe bunaabanga eri oyo akwasa ensonyi.