Engero
Essuula 2
Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo;
2 N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera;
3 Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera.
4 Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa;
5 Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda.
6 Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera:
7 Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;
8 Alyoke akuume amakubo ag'omusango, Era awonye okutambula kw'abatukuvu be.
9 Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango, N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi.
10 Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo;
11 Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga:
12 Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo;
13 Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza;
14 Abasanyuka okukola obubi, N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera;
15 Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola:
16 Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye;
17 Aleka omukwano ogw'omu buto bwe, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we:
18 Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa, N'amakubo ge eri abafu:
19 Tewali abagenda gy'ali abadda nate, So tebatuuka mu makubo ag'obulamu:
20 Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi, N'okwata empenda ez'abatuukirivu.
21 Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo.
22 Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.