Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 31

Ebigambo bya kabaka Lemweri; ebyalagulwa nnyina bye yamuyigiriza.
2 Kiki, mwana wange? era kiki, ai mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ai mwana w'obweyamo bwange?
3 Towanga bakazi amaanyi go, Newakubadde amakubo go eri ekyo ekizikiriza bakabaka.
4 Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okwogeranga nti Ekitamiiza kiri ludda wa?
5 Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne banyoola omusango gw'omuntu yenna abonyaabonyezebwa.
6 Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa, N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike:
7 Anywenga yeerabirenga obwavu bwe, Alemenga okujjukira nate ennaku ze.
8 Yasamanga akamwa ko olwa kasiru, Okuwoza ensonga y'abo bonna abalekebwa nga tebalina bannaabwe.
9 Yasamanga akamwa ko osalenga emisango egy'ensonga, Osalirenga emisango omwavu n'eyeetaaga.
10 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu.
11 Omutima gwa bba gumwesiga, So taabulwenga magoba.
12 Amukola bulungi so si bubi Ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13 Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba, N'akola emirimu n'engalo ze n’essanyu.
14 Ali ng'amaato ag'abasuubuzi; Emmere ye agiggya wala.
15 Era agolokoka nga bukyali bwa kiro, N'awa ab'omu nnyumba ye ebyokulya, N'agabira abawala be emirimu gyabwe.
16 Alowooza ennimiro n'agiguia: Asimba olusuku olw'emizabbibu n'ebibala eby'emikono gye.
17 Yeesiba n'amaanyi, N'anyweza emikono gye.
18 Alaba ng'obuguzi bwe bulimu ettunzi: Ettabaaza ye tezikira kiro.
19 Ateeka engalo ze ku muggo ogubaako ppamba, Emikono gye ne gikwata akati akalanga.
20 Ayanjululiza omwavu omukono gwe: Weewaawo, agololera emikono gye oyo eyeetaaga.
21 Omuzira tagutiira ab'omu nnyumba ye; Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna bambadde olugoye olumyufu.
22 Yeekolera amagodooli; Ebyambalo bye bafuta nnungi n'olugoye olw'effulungu.
23 Bba amanyibwa mu miryango, Bw'atuula mu bakadde ab'ensi.
24 Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda; N'awa omusuubuzi enkoba.
25 Amaanyi n'okutiibwa bye byambalo bye; Era asekerera ebiro ebigenda okujja.
26 Ayasama akamwa ke n'amagezi; N'etteeka ery'ekisa liba ku lulimi lwe.
27 Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye, So talya mmere ya kugayaala.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti
29 Abawala bangi abaakola eby'okwegendereza, Naye ggwe obasinga bonna.
30 Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa: Naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.
31 Mumuwenga ku bibala eby'emikono gye; N'emirimu gye gimutenderezenga mu miryango.