Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 9

Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gatemye empagi zaago musanvu:
2 Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese emmeeza yaago.
3 Gasindise abawala baago, googerera waggulu. Ku bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu,
4 Nti Buli atalina magezi akyamire muno: Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti
5 Mujje mulye ku mmere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabudde.
6 Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu; Era mutambulirenga mu kkubo ery'okutegeera.
7 Anenya omukudaazi yeeswaza: N'oyo abuulirira omubi yeetonnyezaako ebbala.
8 Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa: Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga.
9 Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi: Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyita.
10 Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.
11 Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa.
12 Oba nga olina amagezi, weebeera n’amagezi wekka: Era bw’onoonyoomanga, kuliba ku ggwe wekka.
13 Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi.
14 Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu,
15 Okuyita abo abayitawo, Abakwatira ddala amakubo gaabwe,
16 Nti Buli atalina magezi akyamire muno: N'oyo abulwa okutegeera amugamba nti
17 Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu kyama ye esanyusa.
18 Naye tamanyi ng'abafu bali eyo: Ng'abagenyi be bali mu buziba bw'emagombe.