Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 1

Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano, bwe nnali ndi mu basibe ku mabbali g'omugga Kebali, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda.
2 Ku lunaku olw'okutaano olw'omwezi, gwe gwali omwaka ogw'okutaano ogw'okusibibwa kwa kabaka Yekoyakini,
3 ekigambo kya Mukama ne kijjirira ddala Ezeekyeri kabona mutabani wa Buuzi mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; omukono gwa Mukama ne gubeera ku ye eyo.
4 Awo ne ntunula, era, laba, embuyaga ezikunta olw'amaanyi ne zifuluma obukiika obwa kkono, ekire ekinene n'omuliro ogw'ezingazinga n'okumasamasa okukyetoolodde, era mu gwo wakati ne muva ng'ebbala erya zaabu etabuddwamu effeeza, eriva mu muliro wakati.
5 Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. N'embala yaabyo yali bw'eti; byalina ekifaananyi eky'omuntu.
6 Era buli kimu kyalina obwenyi buna, era buli kimu ku byo kyalina ebiwaawaatiro bina.
7 N'ebigere byabyo byali bigere bigolokofu; ne munda w'ebigere byabyo nga mufaanana munda w'ekigere ky'ennyana: era nga bitangalijja ng'ebbala ery'ekikomo ekizigule.
8 Era byalina emikono gy'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya: era ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe biti;
9 ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kiwaawaatiro ne kinnaakyo; tebyakyuka bwe byatambula; byagenda buli kimu nga byesimbye.
10 Ekifaananyi ky'obwenyi bwabyo, byalina obwenyi bw'omuntu; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'empologoma ku lubiriizi olwa ddyo; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'ente ku lubiriizi olwa kkono; ebyo byonna byalina n'obwenyi bw'empungu.
11 N'obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo byali nga byawuse waggulu; ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu byagattibwa wamu, n'ebibiri byasaanikira emibiri gyabyo.
12 Era buli kimu byagenda nga byesimbye: omwoyo gye gwabanga gugenda, gye byagenda; tebyakyuka bwe byagenda.
13 Ekifaananyi ky'ebiramu ebyo, embala yaabyo yali ng'ebisiriiza eby'omuliro ebyaka, ng'embala ey'emimuli; yayambukanga n'ekkira wakati mu biramu ebyo: era omuliro nga gumasamasa ne mu muliro ne muva enjota.
14 Ebiramu ne biddukana mbiro ne bikomawo ng'ekifaananyi eky'okumyansa kw'eggulu.
15 Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, laba, nnamuziga ku ttaka ku mabbali g'ebiramu, buli bwenyi ku bwenyi bwabyo obuna nnamuziga omu.
16 Embala eya bannamuziga n'omulimu gwabwe baafaanana ebbala erya berulo: era abo abana baalina ekifaananyi kimu: n'embala yaabwe n'omulimu gwabwe byali nga nnamuziga ali wakati wa nnamuziga.
17 Bwe baatambulanga baatambuliranga ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula.
18 Obwekulungirivu bwabwe bwali buwanvu, bwa ntiisa; era abo abana baalina obwekulungirivu bwabwe nga bujjudde amaaso enjuyi zonna.
19 Era ebiramu bwe byatambulanga, bannamuziga baatambuliranga ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga.
20 Omwoyo buli gye gwabanga gugenda, gye baagendanga; eyo omwoyo gye gwabanga gugenda: ne bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo; kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.
21 Ebyo bwe byatambulanga, ne bano baatambulanga; era ebyo bwe byayimiriranga, ne bano baayimiriranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.
22 Era waggulu w'omutwe ogw'ekiramu waaliwo ekifaananyi eky'ebbanga, ng'ebbala erya kulusitalo ow'entiisa, nga kitimbibwa ku mitwe gyabyo waggulu.
23 Era wansi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali bigolokofu, ekimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi, na buli kimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi ku mibiri gyabyo.
24 Era bwe byatambulanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, okuwuuma okw'oluyoogaano ng'okuwuuma kw'eggye: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Era waaliwo eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
26 Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo kwaliko ekifaananyi eky'entebe, ng'embala ey'ejjinja eya safiro: ne ku kifaananyi eky'entebe kwaliko ekifaananyi ng'embala ey'omuntu ku yo waggulu.
27 Ne ndaba ng'ebbala ery'ezaabu etabuddwamu effeeza, ng'embala ey'omuliro munda mu yo enjuyi zonna, okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okwambuka; era okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okukka, nalaba ng'embala ey'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde.
28 Ng'embala eya musoke aba ku kire ku lunaku olw'enkuba, bw'etyo bwe yali embala ey'okumasamasa enjuyi zonna. Eno ye yali embala ey'ekifaananyi eky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama amaaso gange, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.