Ezekyeri
Essuula 44
Awo n'anzizaayo mu kkubo ery'omulyango ogw'ebweru ogw'awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; awo nga luggale.
2 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo.
3 Omulangira ye alituula omwo nga ye mulangira okuliiranga emmere mu maaso ga Mukama; aliyingira ng’afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo omwo mw'anaayitanga ng'avaamu.
4 Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono mu maaso g'ennyumba; ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde ennyumba ya Mukama; ne nvuunama amaaso gange;
5 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, weetegereze nnyo, otunule n'amaaso go era owulire n'amatu go ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu nnyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu.
6 Era ogambanga abajeemu, ogambanga ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, emizizo gyammwe gyonna gibamale,
7 kubanga muyingizizza bannaggwanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna.
8 So temukuumye bintu byange ebitukuvu bye mwalagirwa: naye mweteekeddewo mwekka abakuumi b'ebyo bye nnalagira mu watukuvu wange.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba munnaggwanga, atali mukomole mu mutima era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munnaggwanga yenna anaabanga mu baana ba Isiraeri.
10 Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe.
11 Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'ennyumba, era nga baweerereza mu nnyumba; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, era banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza.
12 Kubanga baabaweererezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'obutali butuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri; kyenvudde mbayimusizaako omukono gwange, bw'ayogera Mukama Katonda, era balibaako obutali butuukirivu bwabwe.
13 So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibaako ensonyi zaabwe n'emizizo gyabwe gye baakolanga.
14 Era naye ndibafuula abakuumi b'ennyumba gye baliragirwa, olw'okuweereza kwamu kwonna n'olwa byonna ebirikolebwa omwo.
15 Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda:
16 abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira.
17 Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy'oluggya olw'omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy'oluggya olw'omunda ne munda.
18 Banaabanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya.
19 Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulanga ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyambalo byabwe.
20 So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakuzanga mivumbo gyabwe; banaasalanga busazi enviiri ez'oku mitwe gyabwe.
21 So ne kabona yenna tanywanga mwenge nga bayingira mu luggya lw'omunda.
22 So tebawasanga namwandu newakubadde eyagobebwa bba: naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab'oku zadde ery'ennyumba ya Isiraeri, oba nnamwandu eyali muka kabona.
23 Era banaayigirizanga abantu abantu bange enjawulo bw'eri ey'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, ne babaawuza ekitali kirongoofu n'ekirongoofu.
24 N'awali empaka be banaayimiriranga okusala omusango; ng'emisango gyange bwe giri bwe banaazisalanga: era bakwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange mu mbaga zange zonna ezaalagirwa; era batukuzenga ssabbiiti zange.
25 So tebasembereranga mufu yenna okwegwagwawaza: naye olwa kitaabwe oba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona.
26 Awo bw'amalanga okulongoosebwa, bamubalirenga ennaku musanvu.
27 Awo ku lunaku lw'anayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda.
28 Era baliba n’obusika; nze ndi busika bwabwe: so temubawanga butaka mu Isiraeri; nze butaka bwabwe.
29 Baaalyanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweewayo olw'omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe.
30 N'ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone byabwe byonna binaabanga bya bakabona: era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyumba yo.
31 Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newakubadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo.