Ezekyeri
Essuula 31
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu mu mwezi ogw'okusatu ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, gamba Falaawo kabaka w'e Misiri n'olufulube lw'abantu be nti Ofaanana ani mu bukulu bwo?
3 Laba, Omwasuli yali muvule ku Lebanooni ogw'amatabi amalungi, era ogw'ekisaanikira eky'ekisiikirize, era muwanvu; n'obusongezo bwe bwali mu matabi amaziyivu.
4 Amazzi gaamuliisanga; ennyanja yamukuza: emigga gye gyakulukuta okwetooloola olusuku lwe; era yatuusa ensalosalo ze eri emiti gyonna egy'omu ttale.
5 Obuwanvu bwe kyebwava bugulumizibwa okusinga emiti gyonna egy'omu ttale; n'amatabi ge ne gaala, ensibuka ze n'ezaala, amatabi ge ne gawanvuwa olw'amazzi amangi, bwe yagasuula.
6 Ennyonyi zonna ez'omu bbanga ne zizimba ebisu byazo mu matabi ge, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ne zizaalira abaana baazo wansi w'amatabi ge, n'amawanga gonna amakulu ne gabeera wansi w'ekisiikirize kye.
7 Bw'atyo n'aba mulungi mu bukulu bwe, olw'okuwanvuwa kw'amatabi ge: kubanga emmizi gye gyali awali amazzi amangi.
8 Emivule egy'omu lusuku lwa Katonda tegyayinza kumukweka: emiberoosi nga tegyenkana matabi ge, n'emyalamooni nga tegifaanana nsibuka ze: so nga tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogumwenkana obulungi bwe.
9 N'amufuula mulungi olw'olufulube lw'amatabi ge: emiti gyonna egy'omu Adeni egyali mu lusuku lwa Katonda n'okukwatibwa ne gimukwatirwa obuggya.
10 Mukama Katonda kyeyava ayogera bw'ati nti Kubanga ogulumizibwa obuwanvu, era atadde obusongezo bwe mu matabi amaziyivu, n'omutima gwe gusituliddwa olw'obugulumivu bwe;
11 okuwa ndimuwaayo mu mukono gw'ow'amaanyi ku mawanga; talirema kumubonereza: mmugobye olw'obubi bwe.
12 Era bannaggwanga, ab'entiisa ab'omu mawanga, bamumazeewo, bamuleseewo: amatabi ge gagudde ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n'ensibuka ze zimenyekedde ku nsalosalo zonna ez'omu nsi; n'amawanga ag'omu nsi gasse okuva mu kisiikirize kye, era bamuleseewo.
13 Ennyonyi zonna ez'omu bbanga zirituula ku bibye ebyagwa, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ziribeera ku matabi ge:
14 waleme okubaawo ku miti gyonna egiri ku mabbali g'amazzi n'ogumu ogulyegulumiza olw'obuwanvu bwagyo, era gireme okuteeka obusongezo bwagyo mu matabi amaziyivu, n'egyagyo egy'amaanyi gireme okuyimirira mu bugulumivu bwagyo, gyonna eginywa amazzi: kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, eri enjuyi ez'ensi eza wansi, wakati mu baana b'abantu, wamu n'abo abakka mu bunnya.
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe yakka mu magombe, naleeta ekiwuubaalo: namubikkira ku nnyanja, ne nziyiza emigga gyayo, n'amazzi amangi ne gayimirizibwa: ne mpuubaaza Lebanooni ku lulwe, emiti gyonna egy'omu ttale ne giyongobera ku lulwe.
16 Nakankanya amawanga olw'eddoboozi ery'okugwa kwe, bwe nnamusuula mu magombe wamu n'abo abakka mu bunnya: emiti gyonna egy'omu Adeni, emironde egya Lebanooni egisinga obulungi, gyonna eginywa amazzi, ne gisanyusibwa mu njuyi ez'ensi eza wansi.
17 Era nagyo ne gikka mu magombe wamu naye eri abo abattibwa n'ekitala; weewaawo, abo abaabanga omukono gwe, abaatuulanga wansi w'ekisiikirize kye wakati mu mawanga.
18 Ofaanana ani bw'otyo ekitiibwa n'obukulu mu miti egy'omu Adeni? era naye olissibwa wamu n'emiti egy'omu Adeni mu njuyi ez'ensi eza wansi: oligalamira wakati mu batali bakomole, wamu n'abo abattibwa n'ekitala. Oyo ye Falaawo n'olufulube lw'abantu be bonna, bw'ayogera Mukama Katonda.